Psalms 101

Zabbuli ya Dawudi.

1 aNnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
nga siriiko kya kunenyezebwa.
3 bSijjanga kwereetereza kintu
kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
sijjanga kubyeteekako.
4 cSijjanga kuba mukuusa;
ekibi nnaakyewaliranga ddala.

5 dOyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
sijja kubigumiikirizanga.

6 eAbeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
y’anamperezanga.

7Atayogera mazima
taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
sirimuganya kwongera kubeera nange.

8 fBuli nkya nnaazikirizanga
abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
mu kibuga kya Mukama.
Copyright information for LugEEEE